Proverbs 2

Empeera y’Okunoonya Amagezi

1Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 aera n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 bbw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 cawo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 dKubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 e Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 fAbatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

9Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 gKubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 hOkwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:

12Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 iabaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 jabasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 kabantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.

16 lAmagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 meyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 nKubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 oTewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

20Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 pKubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 qNaye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
Copyright information for LugEEEE